Club ya SC Villa Jogo Ssalongo ekiguddeko mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, UPDF egikubye goolo 2-0 mu mupiira ogunyumidde abalabi mu kisaawe ky’Amagye e Bombo.
Goolo eziwadde UPDF obuwanguzi ziteebeddwa Kitara Daniel ne Brian Kalumba.
Wabula Villa Jogo Ssalongo omupiira ogwasooka e Wankulukuku yaguwangula goolo 5-0.
Omupiira guno nga gugenda okutandika, nga bwegubadde ku mipiira emirala gyonna, wasooseewo okusiriikiriramu okujjukira omwoyo gw’omugenzi Abubakar Lawal eyali omuzannyi wa club ya Vipers FC era munnansi wa Nigeria eyava ku kizimve naagwa ku luguudo lw’Entebbe wiiki eyise.
Obuwanguzi bwa UPDF bugitutte mu kifo kya 10 n’obubonero 24 okuva mu mipiira 18, ate nga Villa Jogo ya munaana n’obubonero 24 okuva mu mipiira 18.
Villa Jogo Ssalongo egenze okujja mu mupiira guno nga enoonya obuwanguzi bwayo obusooka ku bugenyi season eno, obukyagaanye nakati.
Omupiira omulala oguzanyiddwa, KCCA eyongedde okusuula obubonero bw’egudde amaliri ne Maroons ga 0-0 mu kisaawe e Luzira.
KCCA yamukaaga n’obubonero 25 ate nga Maroons ya 9 n’obubonero 24.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe