Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde enteekateeka Nnamutayiika eyókukulakulanya eby’emizannyo, omuli nókuzimba ebisaawe mu masaza gonna 18.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, yakakasiza bino bwabadde atongoza empaka za masaza ga Buganda ezómupiira ogwébigere ezómwaka guno 2025, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro era ekinogaanyizza nti Obwakabaka bwasazewo okuwandiisa ttiimu za masaza zonna 18 nga club, nga kino kigenda kwongera okusitula omutindo gwémpaka zino nókuyingiza ensimbi mu bonna abakwatibwako empaka zino.
Minister wébyemizannyo abavubuka nébitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, abuulidde Katikkiro nti empaka zino zongedde okuwa abantu ba Kabaka emirimu okuviira ddala ku bazannyi.
Ssentebe wémipiira gya Masaza, Hajji Sulaiman Ssejjengo, akakasiza nti abazannyi bangi bongedde okufuna akatale mu club ezivuganya mu liigi ya babinywera nga bava mu mpaka za Masaza.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Mawokota, Kayima Sarah Nannono Kaweesi, ku lwa Ssentebe omukubiriza wábaami ba masaza, akunze Obuganda okuteeka munkola ebyonna ebyatandisawo empaka zino nókugondera amateeka gémpaka zino.
Ku lwékibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, Edgar Watson, akulira eby’emirimu agambye nti bongedde okunyweza enkolagana nÓbwakabaka okukuuma omutindo gwémpaka zino.
Bannamukago aba Airtel Uganda, Centenary Bank, UNAIDS, CBS, BBS, Plascon beyamye obutassa mukono mu kuwagira empaka zino.
Empaka za Masaza ezómwaka guno 2025 zigenda kutandika ku Saturday nga 21, June, nga bannantameggwa bémpaka ezasembayo eza 2024 aba Buddu be bagenda okuggulawo nga bazuzumba ne Gomba mu kisaawe kya Kitovu Arena mu kibuga Masaka.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 21 nga zizanyibwa, okuva mu 2004.
Gomba yesiinga ebikopo biri 5, Buddu, Mawokota ne Bulemeezi ebikopo 3 buli omu, Ssingo 2, ate Kkooki, Kyadondo, Buluuli ne Busiro ekikopo 1 buli omu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe