Ebitongole by’Obwakabaka ebyenjawulo, ebya government eya wakati saako kampuni ez’enjawulo ezoolesezza eby’emirimu n’empeereza ezitali zimu mu Mwoleso gwa CBS pewosa, zitadde essira kukubangula abantu okufuna obukugu obwenjawulo mu mrimu ejikolebwa naddala abavubuka, omuli enkozesa y’ettaka okwekulaakulanya, Obwegassi, ebikwata ku kusasula emisolo, ,Amateeka ,Akasiimo k’abakozi nebirala bingi.
Omwoleso gwatandise nga 17 June gukomekkerezebwa 22 June,2025, mu Lubiri e Mengo.
Ekitongole kya CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeeterekeera Sacco Limited kitegezezza nti mu mwoleso guno essira ba kulitadde kubangula abavubuka engeri y’okukozesa ettaka okwekulakulanya .
Akulira eby’okutereka ensimbi mu CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeeterekeera Sacco Limited Daudi Zziwa Ssalongo agambye nti bagala okusoosowaza abavubuka okujumbira enkola ey’obwegassi wamu n’okukuuma ettaka lya bajjajabwe obutabbibwa nga balikolerako ebibakulakulanya.
Mu ngeri yeemu Daudi Zziwa ategezezza nti omwoleso guno gubayambye nnyo okufuna abantu abapya okubegattako nokufuna ebiroowozo n’ebibuuzo ebyenjawulo ku byebakola.
Ebimu ku bitongole ebirala ebyetabye mu mwoleso gwa PEWOSA, mulimu akakiiko akalonda abalamuzi wa mu n’okubakwasisa empisa aka Judicial Service Commission ,URA , Electral Commission ,NSSF ,National Drug Authority , Uganda Printing and Publishing Corporation UPPC ,Internal Affairs n’ebirala bingi, nga bisomesa abantu ku mirimu egikolebwa mu bitongole bino, n’obuweerebwa bwabyo eri abantu ba bulijjo.
Abamu ku bantu abasaangiddwa ku midaala nga baliko byebeebuza bategezezza nti guno mukisa gw’amaanyi gwebafunye okusisinkana abakulu mu bitongole bino ate mukifo kimu okusobola okubawa amagezi kubibasomooza.
Maria Tereza Nabulya omwogeezi wa Kakiko ka Judicial Service Commission wamu ne Nakafu Hilda Whitney Uganda Printing and Publishing Corporation UPPC bategezezza nti omwoleso gubayambye nnyo okusisinkana banna Uganda okubasomesa n’okubabuulira byebakola.
Mu ngeri yeemu omukwanaganya w’emirimu gya Kabaka musaza Kkooki Owek Gertrude Ssebuggwawo wamu n’omumyuka wa Kaggo Dr Phiona Kalinda Nakalinda bakunze abantu ba Kabaka okugenda mu mwoleso guno okufuna amagezi kungeri gyebayinza okutandikawo emirimu bekulakulanye, awamu n’okwebuuza ku bikwata ku ndwadde n’enzijanjaba yaazo.
Bisakiddwa: Nakato Janefer