Omulangira Daudi Golooba yazaalibwa nga 14 April,1953, yafudde nga 23 February,2025 mu ddwaliro e Nsambya.
Wabaddewo okumusabira edduwa mu maka ge e Kiwafu Kansanga mu gombolola ye Makindye mu Kampala ne ku muzikiti e Kibuli.
Okumusaalira Salat al-Janazah kubadde ku muzikiti e Kibuli, nga kukulembeddwamu SuprEme mufti Muhammed Galabuzi, ng’ayambibwako Sheik Abdul Hazif Walusimbi akulira ddaawa mu Uganda.
Jjajja w’Obusiraamu mu Uganda Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu ayogedde ku mugenzi Omulangira Daudi Golooba ng’omuntu abadde omwesimbu era omwegendereza mu bintu byonna byabadde akola.
Omulangira Nakibinge agambye nti wadde omugenzi abadde yakasiramuka emyaka 3 egiyise, naye abadde afaayo nnyo okuyiga byonna ebikwata ku busiraamu n’okubigoberera.