Abayizi 24,700 abasoma emisomo gy’ebyemikono mu matendekero agawaggulu,bebalindiridde okutuula ebigezo byabwe ku lw’okubiri lwa wiiki ejja.
Babitandika nga 19 omwezi guno, okutuusa nga 27 may,2022 .
Ssaabawandiisi w’ekitongole ekiteekateeka ebigezo by’emikono neby’obusuubuzi mu matendekero agawaggulu Onesmus Oyesigye, agambye nti ku bayizi 24,700 abagenda okutuula ebigezo, kuliko abayizi abawala 12,557, ate abalenzi bali 12,303.
Abayizi 6,963 bagenda kukola bigezo bya mikono ate abayizi 14,847 bagenda kukola bigezo bya busuubuzi, abayizi 3,050 bagenda kukola bigezo bya science, obuvubi n’obulimi.
Waliwo n’abayizi 37 abaliko obulamu obwenjawulo ku mibiri gyabwe, nga wateereddwawo abantu 8 okubayambako okukola obulungi ebigezo byabwe.
Onesmus era agambye nti kati okusoomezebwa kwebalina by’ebintu ebikozesebwa mu masomo g’ebyemikono okuba eby’obuseere.
Agambye nti abayizi abasinga obungi tebasobola kubyetusaako, n’asaba government ekwatizeeko amatendekero okusobozesa abayizi okusoma nga tebatataagaanye.