Minister w’ettaka mu ggwanga Judith Nabakooba awandiikidde Ssaabaduumizi wa Police Martin Okoth Ochola, alagire abasirikale be okufulumya obutambi bwa camera ku byaliwo, ng’ekisaawe kye Busaabala kisendebwa.
Minister Nabakooba okutuuka okuwa ekiragiro kino abadde Busaabala ngaali nábakulembeze mu district ye Wakiso, aba Municipality ye Makindye Ssabagabo saako abebyókwerinda mu kitundu.
Abaasenda ekisaawe kye kyalo bakikola budde bwa kiro ekyakessa ku lwókubiri lwa wiiki ewedde.
Mu lukiiko olwetabyemu minister Nabakooba n’abakulembeze abalala, abatuuze battotodde engeri ekisaawe kino gyekiyambye okutumbula ebitone,okutegekerako emikolo gya government Emizannyo gya Masomero nébintu ebirala.
Abakulembeze mu kitundu kino nga bakulembedwa Mayor wa Municipality eno Ssalongo Kabuzu Godfrey Ssemwanga, ssentebe we Gombolola ye Masajja Kiyaga John Baptist eyali Omubaka we kitundu kino Ssempala Emmanuel Kigozi Ssajjalyabeene, Omubaka we kitundu kino David Sserukenya, basabye Minister okunonyereza ku bamu ku bannabwe abekobaana n’ebitongole ebikuuma ddembe, nebatandika okutigomya ebyalo nókubabbako ettaka lyabwe.
Omubaka wa Gavumenti mu district ye Wakiso Justine Mbabazi alambise nti government esaanidde okukola ekisoboka okulwanyisa gogolimbo ayetobese mu bakulira akakiiko ake byettaka mu district ye Wakiso, nga yandiba nga yavaako ekibba ttaka mu bitundu bino.
Amyuka Omubaka wa government mu Municipality ye Makindye Ssabagabo Mark Bahengana, alambise nti okunonyereza okwakoleddwa kulaga nti abagambibwa okuba bannyini ttaka okuli ekisaawe kino, tebalina biwandiiko bituufu era abamu kubano baayitidwa okwetaba mu lukiiko luno okutangaaza abatuuze ku nsonga zaabwe nebatalabikako.
Wano Minister Judith Nabakooba wasinzidde nalagira Police okunonyereza bannyini Mmotoka ezakozesebwa okusenda ekisaawe kino bakwatibwe, nga ne Ministry bwekola okunonyereza ku bagambibwa okuba bannyini ttaka lino.
Bisakiddwa:Ssebuliba William