Minister avunanyizibwa ku butebenkevu bwe ggwanga, Gen. Elly Tumwine alagidde ebitongole ebikuuma ddembe okukkomya okukwasisa ekyejo abavubuka abatandise okulumba abasirikale abagumbulula abekalakasa.

Kino wekijjidde nga Police ne bitongole ebikuuma ddembe bizze birwanagana na bavubuka naddala abali ku ludda oluvuganya gavumenti nga bawakanya Police okulemesa enteekateeka zaabwe.

Gen. Tumwine nga ayogeramu ne CBS, alagidde abasirikale okukozesa byebalina okwanganga abavubuka ababakasukira amayinja mu biseera byo bwegugungo.

Gen . Tumwine agamba nti omuntu atusibwako obuvune nga ali mu bwegungungo talina kunenya muntu yenna kubanga naye bweyakubwa essasi nga ali mu lutalo, talina gweyanenya.

Wabula, ekiragiro kya Tumwine kikanze akulira ekitongole kya Foundation for Human Rights Initiative, Livingstone Ssewanyana agambye nti kityobola eddembe lyo buntu.

Facebook Comments Box

Be the first to comment

Leave a Reply