Nga bannamawulire bajaguza olunaku lwabwe mu ggwanga olwa World Press Freedom Day olukuzibwa buli nga 03 May, Dean wa Lutiiko ya Paulo Omutukuvu e Namirembe, the very most Rev.Canon Jonathan Kisawuzi Ssalongo, alabudde bannamawulire okufuba okuba abenjawulo okwewala obulyake ne kalebule mu buwereza bwabwe.
Bino Canon Kisawuzi abyogedde abuulira mu kusaba kwa banamawulire abakristaayo mu kibiina ekibagatta ki CHOUMA, mwebeebaliza Katonda ku lunaku lwabwe olwabanamawulire okubadde Lutikko ya Paulo Omutukuvu e Namirembe.
Dean Kisawuzi agambye nti bannamawulire balina okwewala okufulumya amawulire agasasamaza abantu kubanga amawulire ekika ekyo gakutula abantu emitima, nasomoza banamawulire okusokanga okwetegereza.
Mungeri yeemu Canon Kisawuzi abasomozeza bannamawulire kunyambala n’okukuuma ennono y’ebifo gyebasaka amawulire, era abasabye okubeera abegendereza ennyo nga bakola emiriimu jjabwe naddala mu biseera ebizibu.
Canon Kisawuzi kyokka era asabye abakwatibwako ensonga okusosowaza ennyo eddembe lyabanamawulire.
Abadde omugenyi Omukulu Brigadier Felix Kulaigye, omwogezi w’eggye ly’eggwanga, asinzidde wano nakkiriza nti kituufu bannamawulire abamu batulugunyizibwa naye nti oluusi bebaviirako okukubwa kubanga abamu embeera ebakubya nti bebajikumamu omuliro.
President wekibiina kya bannamawulire mu ggwang kya Uganda Journalists Association (UJA), Mathius Rukundo, naye asabye government eseewo ensawo eyinza okuyambako banamawulire okweggya mu bwavu
President wa bannamawulire aba Kulisitaayo mu kibiina ekya Chouma, Zambaali Bulasio Mukasa, asabye abakuuma Ddembe okusaawo embeera esobozesa banamawulire okukola emiriimu jjabwe mu mirembe awatali kutulugunyizibwa.
Zambaali asabye n’abakulira ebitongole by’amawulire okutereeza emisaala gy’abamawulire, nagamba nti ab’amawulire bamala obudde bungi mu kunoonya n’okutrgeka amawalire wabula nebasasulwa bukunkumuka.
Omuyima w’ekibiina kya CHOUMA era akulira ebyamawulire mu kkanisa ya Uganda, Saddiki Adams, akubiriza banamawulire, okuddayo okusoma ssinga babeera bafunye omukisa, kibasobozese okwongera okubuyingirize bwabwe, wamu n’okwongera okwenyigira mu buwereza bwekkanisa.
Ebyo nga bikyali bityo, omulabirizi we Mityana Bishop Dr James Bukomeko Ssalongo, alabudde ebitongole bya government ebikyalemedde mu muze gwokutulugunya bannamawulire okukikomya kuba bakola omulimu gwa ttendo eri eggwanga.
Mu bubakabwe obwagaliza bannamawulire olunaku olwessanyu, Omulabirizi Bukomeko agambye nti kyenyamiza okulaba nga bannamawulire bayisibwa ng’ensolo ssonga nabo baba bakola mulimu gwabwe.
Bisakiddwa: Ddungu Davis