Kooti ejulirwamu ezeemu okukakasa Faith Philo Kunihira ku kifo ky’omubaka omukyala owa parliament akiikirira district ye Kyenjonjo eyalondebwa mu kalulu ka 2021.
Abalamuzi 3 okuli Muzamiru Mutangula Kibeedi, Irene Mulyagonja ne Christopher Gashirabake bebawadde ensala, oluvannyuma lw’okugoba okujulira okwatwalibwayo gwebaali bavuganya naye, era omubaka eyaliyo Spellanza Baguma Muhenda.
Spellanza abadde alumiriza omubaka Kunihira nti talina buyigirize bumukkiriza kubeera mubaka wa parliament.
Obujulizi obuleeteddwa mu kooti nti Kunihira yaweza ebiwandiiko by’obuyigirize, wadde nga byali byakugatta.
Guno gubadde mulundi gwakubiri nga kooti ejulirwamu ewulira omusango guno, oluvannyuma lw’okulagira nti guddemu okuwulirwa mu August wa 2022. #