Police mu district ye Nakasongola eri ku muyiggo gw’omusajja Owoyesiga Tarasis atemera mu gy’obukulu 45 , nga kigambwa nti yalumbye amaka geyaliko muganziwe n’amutta ne bba gwabadde yakafuna.
Abattiddwa ye Hadija Nangoobi myaka 44 ne bba ategerekeseeko lya Vicent ow’emyaka 40, babadde batuuze ba Bossa Zone mu town council ye Mijeera.
Kigambibwa nti Nangoobi yali muganzi wa Owoyesiga wabula nebaawukana ku ntandikwa y’omwaka guno 2024, era abadde yakafuna omusajja omulala Vicent.
Kigambibwa ebbuba lyeryabagudde Owoyesiga Tarasis omutuuze we Nalukonge mu town council ye Mijeera n’abalumba n’abatematema bombi n’abatta, omwana ow’emyaka 12 yasimattuse.#
Bisakiddwa: Taaka Conslata