President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni ne mukyala we Janet Kataha Museveni bakyazizza Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Gabula Nadiope IV n’omubeeziwe Inhebantu Jovia Mutesi ,okubakulisa okutuuka kukkula ly’obufumbo era nabagabula ekijjulo.
Ekijjulo kibadde mu Maka gwobwa president Entebbe.
Kyabazinga ne Inhebantu baakola emabega y’ebyafaayo nga 18 November,2023 e Bugembe mu Busoga e Jinja.
President Museveni yebazizza Kyabazinga okubanjulira omukyala.
Abatonedde ente 100 sso nga ne family ya Inhebantu agiwadde ente 20.
Museveni asabye Inhebantu okukozesa obuyivu bwe okutumbula enkola za NRM okusobola okukulakulanya abantu be Busoga bave mubwavu.
Kyabazinga Gabula Nadiope IV mu kwogera kwe yebaziza president Museveni olwokumukwatirako nakola omukolo ogw’ekitibwa.
Katuukiro wa Busoga Dr Joseph Muvawala agambye nti bakukozesa obukulembeze obulungi obwa president Museveni, okukyusa obulamu bwa bantu ba Busoga bonna, okwekulaakulanya.
Omukolo gwetabiddwako ababaka ba Parliament okuba e Busoga, baministers abafamily ya Inhebantu okubadde ne taata we Stanley Bayola.#