Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde nti obutawa Nnono na Buwangwa kiitiibwa kyekimu ku biviiriddeko abantu okudobonkanya obulamu bwabwe, naasaba emikolo omuli Okwabya enyimbe giweebwa Obudde obumala.
Abadde yeetabye mu kwabya Olumbe lw’Omugenzi Edward Ssali Taata wa minister wa government zebitundu mu Bwakabaka Owek Joseph Kawuki, saako olw’ Omugenzi Ssegawa Gerald asikiddwa Ssentongo Julius.
Olumbe lubadde ku kyalo Gombya Kiganda mu Ssingo.
Katikkiro alabudde ku muze gw’o kwabizaawo Ennyimbe okusukkiridde ,kyagambye nti kiviiriddeko obutabanguko okweyongera mu b’enganda.
Katikkiro mungeri yeemu asabye abasika okumanya nti bakulembeze abalina Obuvunaanyizibwa nga abalala, naabasaba okubeera abenkanya eri bannaabwe.
Ssabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Kitaffe Paul Ssemogerere nga y’akulembeddemu ekitambiro ky’Emmisa mu lumbe, alabudde abasika abegumbulidde okwezza ebintu byonna byabasikira okuva ku bakadde baabwe, ate nebabitunda kko n’Okubirwaanira.
Ssabaganzi Ssalongo Emmanuel Ssekitooleko ku lw’Omukulu w’Ekika ky’Enkima Omutaka Mugema Nsejjere ,yebazizza Omugenzi Edward Ssali okukuza Obulungi abaana.
Omubaka akiikirira Kassanda South mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu Frank Kabuye ,alabudde government ku nguudo embi eziyitiridde mu district ye Kassanda, ekizingamizza eby’obusuubuzi,Ebyobulamu n’ebyenjigiriza.
Ssentebe wa district ye Kassanda Kasirye Zzimula , ategeezezza nti Omugenzi Edward Ssali yali musajja anyweerera ku kigambokye era ayagala ennyo obwenkanya.
Owek Joseph Balikuddembe Kawuki nga yaasikidde kitaawe Omugenzi Edward Ssali, era nga ye minister wa government ez’ebitundu era nga yavunaanyizibwa ku Bantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda,yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka Olw’omukwano gwalaze enyumba yaabwe, wamu naabo bonna abatambudde naye mu ntekateeka z’Olumbe.
Omukolo guno gubaddeko Naalinnya Sarah Kagere ne Owek Bbaale Mugera ,Ssabaganzi Ssalongo Emmanuel Ssekitooleko, abaami b’Amasaza abakulembeddwaamu Katambala Haji Sulaiman Magala ne Kangaawo Ronald Mulondo, abaami b’Amagombolola, ababaka mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu,minister w’Ettaka Judith Nnaabakooba,Minister Kyeyune Haruna Kasolo,Abaami b’Amagombolola, ab’emiruka, n’abatongole.
Bisakiddwa: Kato Denis