Ssentebe w’abepisikoopi mu Uganda era nga ye musumba w’essaza lya klezia erya Kiyinda Mityana Bishop Anthony Zziwa yekokkodde obubbi bw’emmwanyi obukudde ejjembe mu bitundu bya Buganda, ekiyinza okuviirako okukosa omutindo gw’emmwanyi.
Abalimi b’emmwanyi naddala mu bitundu bye Mubende, Mityana.m Masaka, Lwengo n’ewalala bazze bemulugunya ku bantu abawulula emmwanyi zabwe ku misiri nga n’ezimu zikyali nto.
Mu kiseera kino ebbeeyi y’emmwanyi etadde akaseko ku matama g’abalimi, nga buli kilo embisi eri wakati wa shs 3000 ne 4000 okusinziira ku kitundu, so nga kase kilo eri waggulu wa shs 8000.
Wano Bishop Anthony Zziwa wasinzidde abakulu mu by’okwerinda okuyingira mu nsonga y’okulwanyisa obubbi bw’emmwanyi nti buyinza okufiiriza eggwanga singa omutindo gw’emmwanyi gukosebwa olw’okunoga embisi.
Bishop Zziwa abadde Nkazebuku mu gombolola ye Maanyi mu ssaza Busujjju mu district ye Mityana, ng’akulembeddemu emissa ey’okujjukira omujulizi Noa Mawaggali.
Alagidde abakulira amasomero agali ku musomero ga ekereziya okuzzaawo ebibiina by’abajulizi mu masomero abyeyambise okusomesa abaana ebikwata ku bajulizi ba Uganda.
Omusumba Zziwa agambye nti waliwo abantu bangi abeerimbise mu mpeereza z’abajulizi kyokka nga byebabuulira byawukanira ddala ku ngeri abajulizi gyebaakolamu emirimu gyabwe.
E Nkazebuku omujulizi Noa Mawaggali gy’azaalwa, era nga ku kyalo kino kwazimbibwako eklezia eyamubbulwamu era n’ekifuuka ekiggwa kye.
Noa Mawaggali yazaalibwa nga 01 May 1851, nattibwa nga 31 May 1886, e Kiyinda Mityana era ewali lutikko y’essaza.
Abakulu mu ssaza lya Kiyinda Mityana baasalawo buli Sunday esooka mu mwezi gwa May, wabeerewo okulamaga e Nkazebuku, Noa Mawaggali gy’azaalwa.
Omwami wa Ssabasajja Kabaka alamula essaza Busujju Kasujju Israel Lubega Maaso naye yetabye butereevu mu kulamaga kuno.
Okulamaga ku kiggwa kya Noa Mawaggali kugguddewo ennamaga ez’emirundi 4 ezikolebwa ku biggwa by’abajulizi mu ssazza Kiyinda Mityana okuli okwa Noah Mawaggali, Matia Mulumba, Ambrozio Kibuuka ne Lukka Baanabakintu.#