Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu ggwanga ekya National Agricultural Research Organisation (NARO), kisse omukago n’obukulembeze obwennono obwa Rwenzururu, okukolera awamu okutumbula ebyobulimi mu bendobendo lino.
Omukago guno era gugendereddemu n’okutumbula ebyenfuna, obutale n’okuwagira emirimu egyenjawulo ejikolebwa abatuuze mu bendobendo lino erye Rwenzori.
Mu nteekateeka eno aba NARO bakubunyisa tekinolojiya owomulembe agezeseddwa era anoonyerezeddwako eri abantu mu bitundu bino, okubayambako okweggya mu bwavu n’okutumbula obuyiiya mu kitundu kino mu nkola etuumiddwa Technologies, innovations, and management practices (TIMPs).
Mukwogerako eri abakulu abasisinkanye mu nkolagana eno, ebadde ku wooteri ya Rwenzori International Hotel e Kasese,Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere, agambye nti enkolagana eno yakubayambako okutumbula ekitundu, okukyongeramu obuyiiya, nenkolagana era asanyukidde nnyo omukago oguteekedwako emikono.
Agambye nti ekitundu kya Rwenzori kyetaaga okwongera okuwagirwa kuba emyaka mingi kibadde kisigalidde emabega naddala mu bya tekinolojiya ow’omulembe n’ebyokunonyereza mu byobulmi n’obulunzi.
NARO eriko tekinologiya gwezze evumbula mu by’obulimi n’obulunzi mu bintu ebyenjawulo ebisoba mu 1,000, ebisobola okuyamba abantu okufuna amagoba agawera mu mirimu gyabwe.
Ssenkulu wa NARO, Dr. Yona Baguma, agambye nti Uganda weetuuse yeetaga okukozesa ku tekinolojiya owekikugu mu ntambuza y’emirimu bweba yakutuuka ku biruubirirwa byayo ebyekyasa, n’okutuukiriza ekirooto kya president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, ekyokuggya abantu mu bwavu.
Agambye nti NARO ekoze emikago egyenjawulo nabantu abakwatibwako ensonga n’ekigendererwa eky’okutumbula obuweereza mu ggwanga, era basanyufu nti nabakulembeze ab’ennono mu Rwenzururu nabo beegasse ku ntegeka eno.
Agambye nti kati Rwenzururu yegasse ku bukulembeze obw’ennono obulala okuli Obwakabaka bwa Buganda, Obukama bwa Tooro, Obukama bwa Bunyoro abaasooka okukola emikago n’ekitongole kya NARO, nga bwebateekateeka okwegattibwako Obwakyabazinga bwa Busoga, wamu n’akakiiko akataba enzikiriza z’eddiini mu ggwanga aka Inter-Religious Council of Uganda (URCU).
Bisakiddwa: Ddungu Davis