Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yeebazizza Ddunda Namugereka olw’Obulamu obulungi bwamuwadde, n’Okumutuusa ku myaka 68 egyobukulu wamu na byonna byakoledde Obuganda n’ensi eno.
Nnyininsi Ssaabasajja abadde ayogerako eri Obuganda ku mikolo gyókukuza amazaalibwage, gabadde mu lubiri lwe .
Ccucu Musota mu ngeri eyenjawulo asiimye abantube olw’okugoberera byonna byazze alagira.
Ssaabasajja Kabaka akkaatirizza amaanyi agali mu bwegassi mu buli kintu ,era alagidde abantube bonna obutassa mukono mu kwegattira mu bikulaakulanya Obuganda.
“Okwegatta gwe musingi gwóbuwanguzi bwaffe” Ssaabasajja Kabaka
Nnyininsi Ekiryo Sserulanda ekimaamidde Obuganda akuutidde abantu be okunyweza obumu mu byonna byebakola, bwebaba bakuwangula nókutuuka kwebyo byebayaayanira.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye abantu ba Ssemunywa obutakoowa kugoberera biragiro bya Beene, kyokka naabalabula ku kabi akali mu butakuuma mateeka g’abasawo.
Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Seventh day Adventist Church Pastor Dr Moses Maka atenderezza Omutonzi olw’Obulamu bwa Beene, era namweebaza olweebyo byaakoledde Obuganda.
Omukolo guno gwetabiddwako bakatikkiro abaawummula, ba Nnaalinnya, abalangira n’abambejja, ba minister ba Ssaabasajja ,abaami b’Amasaza n’abantu abalala bangi.
Okusaba kukulembeddwamu abékanisa yábadvent, era ssaabalabirizi Pr.Dr.Mose Maka Ndimukika yakulembeddemu okusabira Ssaabasajja nÓbuganda bwonna.
CCucu Sseggwanga Ssaabasajja Kabaka yazaalibwa nga 13 April ,1955 mu ddwaliro e Mulago.
Yazaalibwa ssekabaka Edward Fredrick Muteesa II n’Omukyala Sarah Nalule Kisosonkole.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa