Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Mawogola, lulonze Asaph Mwebaze, nga omutendesi omuggya mu kwetegekera empaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025.
Asaph Mwebaze ku mulimu guno azze mu bigere bya Fred Kasekende eyatendeka Mawogola season ewedde 2024 wabula nga tebasomoka mutendera gwa bibinja.
Asaph Mwebaze wadde alina obumanyirivu mu kutendeka club eziwerako naddala mu Uganda Premier League, wabula guno gwe mulimu gwe ogugenda okusooka mu mpaka z’Amasaza ga Buganda.
Uthuman Kateregga Mwanaadaamu amyuka ssentebe w’olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Mawogola, akinoganyiza nti obumanyirivu buno bwe businze okubasikiriza okuwa Asaph Mwebaze omulimu guno.
Mawogola tewangulangako ku mpaka za Masaza, kyokka yakazannya final 2 mu 2004 ne 2009 wonna nga tewangula.
Empaka za Masaza ez’omwaka guno 2025 zigenda kutandika nga 21 May, nga Buddu be bannantamegwa b’empaka ezasembayo eza 2024.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe