Ppookino Jude Muleke nga yakamala okulangirira olukiiko olugenda okuddukanya ttiimu y’essaza lino mu mpaka za Masaza ez’omwaka guno, olukiiko luno nate lukakasizza Eric Kisuze ng’omutendesi omuggya owa ttiimu y’essaza Buddu.
Ttiimu manager wa Buddu, Ssalongo Zziwa Steven, yayanjulidde Bannabuddu omutendesi Eric Kisuze, ku mukolo ogubadde ku Front Page Hotel e Namasuba.
Eric Kisuze ku mulimu guno azze mu bigere bya Simon Ddungu eyawangulira Buddu ekikopo omwaka oguwedde 2024 wabula nga kati yagenze ku ttiimu y’essaza Gomba.
Eric Kisuze naye season ewedde yabadde mutendesi ku ttiimu y’essaza Kabula, era yabadde musaale nnyo mu kutuusa Kabula ku mutendera gwa quarterfinal.
Eric era yaliko omutendesi ku ttiimu y’essaza Mawokota, nga mu kiseera kino era ye mutendesi wa Uganda Martyrs University Nkozi.
Eri Kisuze oluvanyuma lw’okulangirirwa ku mulimu guno, aweze nti amanyi bulungi nnyo ekitiibwa kya Buddu, era agenda kukola butassa mukka butassa mwoyo Buddu okweddiza ekikopo kino.
Asabye Bannabuddu enkolagana ey’omuggundu.
Buddu okuwangula ekikopo omwaka oguwedde 2024 yakuba Kyaggwe goolo 1-0 mu kisaawe e Namboole.
Empaka za Masaza 2025 zisuubirwa okutandika nga 05 July.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe