Kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo leero lwesuubirwa okusalawo oba eyimiriza oba okugenda mu maaso n’okuwulira emisango gy’obulabbayi n’obukenuzi egivunaanibwa Minister omubeezi owensonga ze Karamoja era omubaka omukyala owa District ye Buduuda Agnes Nanduttu.
Wiiki ewedde Nandutu ngayita mu munnamateeka we Caleb Alaka yasaba kkooti okuyimiriza okumuwozesa okutuusa nga kkooti etaputa semateeka esazeewo kubutuufu bw’emisango egivunaanibwa.
Kyokka Oludda oluwaabi lwasaba kkooti egobe okusaba kwa Nanduttu nti kubanga teri nsonga yonna eyetaaga kutaputibwa era lwategeeza, nti balabika bagezaako kutwaliriza budde obuwozesa minister.
Nga 19 April,2023 minister Nanduttu yasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira gyeyabeera okumala ebbanga erikunukkiriza mu wiiki 3, ate oluvannyuma nayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Yaggulwako omusango gw’okwezibika amabaati agaalina okutwalibwa e Kalamoja agawerera ddala 2000, kyokka omusango nagwegaana.
Nandutu agamba nti yavunaanirwa mu tteeka kyamu nga n’olwekyo asaba kkooti ewozesa abalyake okukkiriza eyimirize okumuwozesa.
Omulamuzi wa kkooti Jane Kajuga kwekusaawo olwa nga 29 May, 2023 okusalawo ku nsonga eno.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, wakati wa June omwaka 2022 ne February 2023 Minisita ngakozesa ekifo kye, yezibika amabaati ago ngakimanyi bulungi nti gaali galina kuweebwa abaweggyere be Karamoja.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam