Kkooti etaputa semateeka erangiridde nti okulima, okusuubula n’okukozesa ekirime ky’enjaga n’amayirungi (miraa) mu Uganda tegukyali musango nti kubanga tewali tteeka libikugira.
Abalamuzi 5 aba kkooti ya semateeka abakulembeddwamu amyuka sabalamuzi Richard Buteera basazizaamu etteeka erya Narcotic Drugs and Psychotropic Substances control Act 2015 eribadde ligufuula omusango okukozesa ebirime ebyo mu ggwanga.
Mu nnamula yabwe, abalamuzi bagamba nti parliament bweyali eyisa etteeka lino tewaali kugoberera mateeka agagifuga, nga n’omuwendo gw’ababaka abessalira abaali bateekeddwa okusemba etteeka lino gwali teguwera.
Government ng’eyita mu ministry evunanyizibwa ku nsonga ezomunda mu ggwanga yayisa ekiragiro ekiwera okulima n’okutunda amayirungi ng’egamba nti ekimera kino kifumbekeddemu ebirungi ebikosa obwongo bw’abantu ebiyitibwa cathinone and cathine.
Mu 2017 abalimi b’amayirungi ebegattira mu kibiina ekya Wakiso Miraa Growers and Dealers Association baaddukira mu kkooti ya semateeka, nebaloopa government ya Uganda nga bawakanya okuwera ekirime kino.
Baategeeza nti okusinziira kukunoonyereza kwebaakola amayirungi ddagala ddungi eriwedde emirimu, era tessibwa mu ttuluba ly’ebiragalalagala nga government bwegamba.
Mu nnamula yaabwe, abalamuzi ba kooti ya ssematerka bakkiriziganyiza nebasazaamu etteeka eribadde likugira okulima nookukozesa ebirime bino bwebakizudde nti lyayisibwa mu mutima mukyamu awatali kugoberera mateeka agafuga parliament.
Kkooti eragidde government okuliyirira abalimi bano ensimbi zonna zeboononedde mu musango guno.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam