Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey’abazannyi abatasussa myaka 17 eya Uganda Cubs, eteekeddwa mu kibinja K mu mpaka za FIFA U17 World Cup, kirimu France, Chile ne Canada ezigenda okuzannyibwa omwaka guno 2025.
Eno ye ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere egenda okusooka okuvuganya mu mpaka z’ensi yonna.
Empaka zino zigenda kubeerawo okuva nga 03 okutuuka nga 27 November,2025 mu kibuga Doha ekya Qatar.
Amawanga 48 gegagenda okuvuganya mu mpaka zino, gasengekeddwa mu bibinja 12 nga buli kibinja kirimu ttiimu 4.

Empaka zino zatandika mu 1985.
Germany be bannantamegwa b’empaka ezasembayo era bebalina ekikopo.
Nigeria ye kyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi giri 5.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe