Olukiiko lwa ba minister olwatudde luyisizza ekiteeso ekyokuwa ekkanisa ya Uganda obuwumbi bwa shs 2 okujiyambako mu nteekateeka y’olunaku lw’abajulizi omwaka guno 2025 ebyokubaawo nga 03 June e Namugongo Nakiyanja.
Ekkanisa ebadde mu bwetaavu bwa buwumbi bwa shillingi obuwumbi 2 n’obukadde 200, okuteekateeka ebyetaagisa era ensimbi zino zisuubirwa okusindikibwa ku akawunta yekkanisa obutasukka Wednesday ya wiiki eno.
Olukiiko lw’abakwatibwako ensonga olutali lw’abalabirizi olwakulembedde okusaka ensimbi zino lukulirwa minister w’ebyeobulamu era omubaka w’ekibuga Lira, Dr Jane Ruth Aceng Ocero.
Okusinziira ku ssentebe w’olukiiko olutegesiteesi mu ekkanisa ya Uganda, Bishop Loum Godfrey, ensimbi zino zakubayamba kinene n’okumaliriza ebibadde bikyetaagisa, era nti mukiseera kino bali ku kawefube wakuyooyota kifo abagenda okukulemberamu okusinza webanatuula.
Agambye nti bbo abalamazi abaasimbula okuva mu Northern Uganda abagenda okukulemberamu ebikujjuko batuuse e Luweero, nga nolwaleero basuubira okuyitako mu masomero agamu nga tebanaba kwolekera Kampala.
Bishop Loum mungeri yeemu agambye nti bakuddamu okusisinkana ab’ebyokwerinda okusalawo amakubo, ebifo, nentuuza yaabagenyi bwenaabeera, nga bino byonna bisuubirwa okukomekerezebwa ku friday nga 01 May,2025 era lwelugenda okubeera olunaku lw’abavubuka.
Kinajjukirwa nti okubulira ekigambo kya katonda ku bikujjuko byolunaku lwabajulizi omwaka guno kwakukulemberwamu eyali Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda owoomusanvu Emeritus Henry Luke Orombi ng’ayambibwako Ssaabalabirizi aliko ow’omwenda Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu.
Obulabirizi 6 okuva mu Northern Uganda Cluster, okuli obwe Kitgum, Lango, Madi, Nebbi, West Nile, ne West Lango Diocese bebali mu nteekateeka z’omwaka guno.
Bano bebasembyeyo mu mwetooloolo gw’okutekeka okulamaga kwe Namugongo bukya enkola eno eteekebwa mu ngeri eye Bibinja neggyibwa mu nkola y’obulabirizi kinnoomu (from Individual diocese preparation to a cluster group).
Bisakiddwa: Ddungu Davis