Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Cameroon ey’omupiira ogw’ebigere eya Indomitable Lions, Marc Brys, alangiridde ttiimu yabazannyi 25 egenda okuzannya ne Uganda Cranes mu mupiira ogw’omukwano omwezi ogujja ogwa June.
Uganda Cranes mu nteekateeka eno egenda kuzannya emipiira 2 egy’omukwano, era gyonna gigenda kuzanyibwa mu kibuga Marrakech ekya Morocco.
Uganda Cranes ejja kusooka kuzannya ne Cameroon nga 06 June, ate ezeeko okuzannya ne Gambia nga 09 June,2025.
Omutendesi wa Cameroon ku ttiimu gy’alangiridde kuliko abazannyi okuli Andre Onana, Carlos Baleba ne Bryan Mbeumo abazannyira e Bungereza.
Mungeri yeemu n’omuzannyi Frank Zambo Anguissa azannyira mu club ya Napoli eyakawangula liigi ya Italy talabikidde ku ttiimu eno, era ttiimu eno egenda ku kulemberwamu captain Vincent Aboubakar.
Cameroon bwe maliriza okuzannya ne Uganda Cranes nga 06 June, ejja kuzako okuzannya ne Equatorial Guinea nga 09 era omwezi gwegumu.
Omutendesi wa Uganda Cranes, Paul Joseph Put, yayita ttiimu yabazannyi 28 okwetegekera Cameroon ne Gambia, era ttiimu ejja kusitula nga 02 June okugenda e Morocco.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe