Eggye lya Uganda erya Uganda People’s Defense Forces, (UPDF), mu butongole lifulumizza ekiwandiiko ekirambika nga bwerisazizzaamu enkolagana yaalyo ne goverment ya Bujirimaani mu byekijaasi, olw’omubaka w’eggwanga eryo mu Uganda, Mathias Schauer, nti okweyisa mu ngeri etajja nsa n’okusekeeterera goverment ya Uganda.
Gyebuvuddeko, UPDF yafulumya ekiwandiiko ngeegamba nti Omubaka wa Germany mu Uganda , Mathias Schauer, yeenyigira mu kuvugirira ebikolwa eby’obutujju mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu, ebiyinza n’okuvaako obutabanguko mu ggwanga.
UPDF era yavumirira ekyamawanga gaabazungu okweyingiza mu nsonga za Uganda, era nti tebagenda kukkiriza bagezaako kwagala kutabangula ggwanga.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa nga 26 May,2026 ekitereddwako omukono gw’akola ng’omwogezi w’amaggye ga UPDF, Col. Chris Magezi, UPDF egamba nti tegenda kukkiriza bantu bataagula mirembe mu Uganda, era esazizaamu mbagirawo enkolagana yaayo ne Germany mu byekijaasi.
Ambassador Schauer abadde mubaka wa Germany mu Uganda okuva nga 25 July mu mwaka gwa 2020, era ajjukirwa okulabika nga awanyisiganya ebigambo ne munnamawulire Andrew Mwenda, bwebaali mu nsisinkano ne muto wa president Museveni era omukwanaganya w’enteekateeka ya Operation Wealth Creation, Gen Caleb Akandwanho, amanyiddwa nga General Salim Saleh mu district ye Gulu.
Bino okubaawo Ababaka b’amawanga amalala baali bemulugunya ku bubaka obussibwa ku mutimbagano gwa X, obuyita ku kibanja ekiri mu mannya g’omuduumizi w’eggye ly’eggwanga Muhoozi Kainerugaba obugambibwa nti butyoboola enkolagana ya Uganda n’amawanga amalala.