Munnamateeka Elias Luyimbaazi Nalukoola ng’ayita mu bannamateekabe abakulembeddwamu George Musisi ajulidde ng’awakanya ensala y’olumamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Benard Namanya, eyasazizzaamu obuwanguzi bwe ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North.
Okulonda kwaliwo nga 13 March 2025, akalulu akaalimu vvaawo mpitewo, n’okuyiwa omusaayi.
Omulamuzi Namanya agambye nti akalulu kano kaalimu okutyoboola amateeka g’ebyokulonda, era naalagira akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda okuggya mu bwangu.
Omulamuzi Namanya yeesigamye ku nsonga okuli nti abalonzi abasoba mu 16,640 okwali n’omuwaabi yennyini munna NRM Faridah Nambi baalemesebwa okulonda kubanga akakiiko k’ebyokulonda kaalemererwa okuzza ebyava mu bifo 14.
Omulamuzi agambye nti era yafunye n’obujulizi ku Kkanso Nalukoola nti yennyini ku lunaku lw’okulonda lwennyini yakola kakuye ekikontana n’amateeka.
Munnamateeka Luyimbaazi Elias Nalukoola yalangirirwa ku buwanguzi bw’omubaka wa Parliament owa Kawempe North nga 13 March 2025 oluvannyuma lw’okuddamu okulonda okujjuza ekifo ekyo ekyalimu omugenzi Muhammad Ssegirinya.
Omulamuzi ategeezezza nti tekiba kyabwenkanya kuleka balonzi bamu bbali, nga n’olwekyo obwenkanya mu nteekateeka y’okulonda omukiise waabwe bwetaagisa.
Okulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Parliament owa Kawempe kwajjula emivuyo omwali n’okukuba bannamawulire nebafuna n’embali n’abamu nebatuuka n’okusuulawo emirimu nebayimiriza eby’okusaka amawulire g’akalulu.
Nalukoola munnakibiina kya National Unity Platform akalulu kano yakawangula n’obululu 17,939, ate Nambi Faridah Kigongo eyakwata eky’okubiri era nga yeyawaaba yafuna 9,058..
Wadde nga Nambi yawawabira Nalukoola n’akakiiko k’ebyokulonda, munnamateeka wa Electoral Commission of Uganda Eric Ssabbiiti agambye nti ng’akakiiko bakkiriziganya n’ensala ya Kooti, era tebagenda kujulira.
Agambye nti kyebagenda okukola kwekutegeka akalulu akalala mu nnaku 60 ezibaweebwa ssemateeka, okuva olwa leero nga 26 May,2025 omusango kwegusaliddwa.#