Omubaka wa parliament owa Nyendo Mukungwe era Commissioner wa parliament Mathias Mpuuga Nsamba, attongozza ekibiina ky’ebyobuguzi ekipya ekituumiddwa Democratic Front.
Democratic Front eri wansi w’omukago ogw’ekisinde kya Democratic Alliance.
Akabonero ka Democratic Front, gwe muti omunene ogukubiddwa mu Uganda ennene, nga langi zaakyo kuliko eya kiragala, Orange, ne bbululu owamazzi oba omutangaaavu
Owek.Mpuuga bw’abadde atongoza ekibiina kino ku wofiisi zabwe e Namirembe, agambye nti bali mu buwuufu obw’okubaga n’okusiimba emirandira gy’enkyukakyuka eyannama ddala mu nnambika y’obukulembeze bwa Uganda, etambulira mu mateeka, emirembe n’enkulaakulana.
Owek Mpuuga asabye bannakibiina kino nebannakisinde kya Democratic Alliance baanirize omwana azaaliddwa , era bamusobozese okuzannya ebyobufuzi ebitambulira ku mulamwa oguzaamu bannansi essuubi, n’okulwanirira enkyuukakyuuka ezitambulira ku miramwa emituufu.
Ekisinde kya Democratic Alliance kyatongozebwa mwaka oguwedde 2024, era omukwanaganya waakyo Owek Mathias Mpuuga Nsamba yategeeza nti singa banaaba bagoberedde omulamwa gwakyo, ekisinde kino oba oli awo kyali kyakuvaamu ekibiina kyebyobufuzi bannakibiina abagala okwesimbawo mu mukago guno kwebaneesimbira, era ekyo kyekyanjuddwa.#