Club ya KCCA egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier, engabo egikwasizza maanyi ey’okuggumiza ttiimu eno mu kwetegekera season ejja eya 2025/26, erangiridde Lazaro Bwambale nga omuzannyi ow’okubiri gwe bakansiza mu katale kano.
Lazaro Bwambale avudde mu club ya Kitara oluvanyuma lw’endagaano ye ne Kitara FC okugwako kunkomerero ya season ewedde.
Bwambale agenda kuddamu okukola n’omutendesi Brian Ssenyondo gwe yali naye ku Kitara, wabula nga kati bamulonze okukola ne Jackson Magera okutendeka KCCA.
KCCA egenze okulangirira Lazaro Bwambale nga basoose kukansa omuteebi Ivan Ahimbisibwe okuva mu URA.
Agenda kuvuganya nabazannyi abalala okuli Haruna Lukwago ne Gavin Kizito Mugweri ku namba 2.
Lazaro Bwambale era yaliko mu mpaka z’aMasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, ng’azannyira ttiimu y’essaza Mawokota.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe