President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine akiise embuga, ng’awerekeddwako bannakibiina abalala.
Asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, mu nsisinkano etakkiriziddwamu b’amawulire.
Kyagulanyi awerekeddwako akulira oludda oluvuganya mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba, akulira akabondo k’ababaka abava mu Buganda Muhammad Muwanga Kivumbi, sipiika wa KCCA Hajarah Luyirika, omubaka omukyala owa Kasanda era akulira abakyala mu NUP Flavia Nabagabe Kalule n’abalala.
Oluvannyuma lw’ensisinkano Katikkiro ne Kyagulanyi bogeddeko eri abamawulire.
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde banna byabufuzi ku mitendera egyenjawulo okuwangana ekitiibwa nókumalira ensonga mu bisenge kibayambeko okuzimba eggwanga eryenkya.
Katikkiro agambye nti kikulu nnyo banna byabufuzi okukomya okusika emiguwa gyokka ku buli nsonga ,wabula akaseera katuuse bano batandike okwogerezeganya era ebituukiddwako bissibwe mu nkola.
Katikkiro era ajjukiza banna byabufuzi nti okusalawo ku buli nsonga mu busungu kibi kiyinza okuzaalira eggwanga lino ebitukula, nabasaba balwanirire nnyo enfuga egoberera amateeka okubukala mu ggwanga.
President wékibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine agambye nti ezimu ku nsonga zebasabye Katikkiro kwekubongera ku ddoboozi erivumirira ékiwamba bantu ekitakendeera mu ggwanga, okuva akalulu lwekaakomekerezebwa.
Kyagulanyi mungeri yemu yebazizza Obwakabaka, n’agamba nti buli lwebatuuka embuga bafuna okuwabulwa okwenjawulo mu ngeri yókukwatamu ensonga enkulu mu ggwanga.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif
Ebifaananyi: MK Musa