Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Abavubuka Okwongera okwettanira Obufumbo obuliwo mu mateeka, kuba buweesa ekitiibwa era bufuula ababulimu ab’obuvunaanyizibwa.
Katikkiro abyogeredde Sseguku mu Maka g’Akulira enzirukanya y’Emirimu radio CBS Omuk Robert Kasozi n’Omukyaala Jackie Kasozi, Omwana wabwe Nalwoga Roberta bwabadde ayanjula mwana munne Hilary Muchunguzi Murungi.
Katikkiro asabye Abaana ba Nambi obutatemula Buwangwa na Nnono za Buganda nga bakolera ebitajja nsa ku mikolo ng’Okwanjula ne ku Mbaga.
Minister w’ebyobuwangwa ,Ennono, Embiri n’Ebyokwerinda Owek Dr Anthony Wamala, yebazizza Omuk Kasozi olw’Okukuza Obulungi Omwana Nalwooga Roberta
Omumyuuka w’Omuhikirwa wa Tooro Dr. William Kweemara, ayozaayozezza abagole Nalwooga Roberta ne munne Hilary Muchunguzi Murungi olwokutuuka ku Kkula lino, era nagamba nti kano kabonero akooleka Enkolagana y’Obwakabaka bwa Buganda n’Obukama bwa Tooro.
Omukolo guno gwetabiddwako Abalangira abaakulembeddwamu Omulangira Chrispin Jjunju Kiweewa, Katikkiro eyawummula Owek Joseph Mulwanyammuli Ssemoogerere, amyuuka omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Ahmed Lwasa,Owek JW Katende, Owek Joseph Kawuki, Owek Robert Sserwanga Ssalongo, bannaddiini n’abebitiibwa abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis












