Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde bannabitone naddala abayimbi ne bannakatemba okufa ennyo ku kukuza ebitone byabwe bibawe ensimbi ezeegasa, mu kifo ky’okululunkanira ezo ezigabwa nezibaggya ku mulamwa.
Katikkiro okwogera bino abadde asisinkanye Omuyimbi Irene Namatovu , azze okumwanjulira enteekateeka z’Ekivulu kye kyeyatuumye “Strong woman” ekinabeera ku Serena Hotel nga 21.8.2026.
Owomumbuga agambye nti abayimbi ne bannakatemba basaanye bamanye nti okuyimbira abantu tekikoma ku kubasanyusa kwokka, wabula kubawa byamagezi era ebizimba eggwanga.
Katikkiro awadde abayimbi amagezi bongere obuyiiya mu ngeri gyebayimbamu, baleme kwemalira mu kudda mu kwogera ku by’amateeka agalambika ebiyiiye ‘Copy Right”, gebeesibako nti gabalemesezza okufuna ensimbi.
Minister w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantuba Kabaka Owek. Chotilda Nakate Kikomeko ku lwa Owek Ssalongo Robert Sserwanga ow’Abavubuka n’Ebitone, yebazizza Irene Namatovu olw’Obuyiiya obussibwa mu Nyimbaze ezenjawulo, era naamusaba asigale nga kyaakulabirako eri abayimbi abalala.
Irene Namatovu ne Bba Geoffrey Lutaaya beebazizza abantu mu Buganda ne Uganda olw’Obuwagizi bwebabawadde, era nebasuubiza okusigala nga bayimba ebizimba.
Bisakiddwa: Kato Denis









