Kooti enkulu mu Kampala esalidde abantu 2 ekibonerezo kya kuwanikibwa ku kalabba, olw’okukulemberamu olukwe lw’okutemula omukyala Susan Magara mu February 2018, ate abalala omusanvu basaliddwa gwakusibwa mayisa.
Omulamuzi Alex Ajiji asindise Hajara Nakandi ne Buwembo Abbas Musa battibwe ku kalabba.
Obujulizi obwaleetebwa mu kooti bulaga nti Buwembo yeyakulemberamu omupango ogw’okuwamba Susan Magara, okumukolako ebikolwa byonna eby’ekko bweyali tanaffa, era yeyakola n’ekikolwa eky’okumutemula naamutta.
Obujulizi era bwalaze nti Nakandi yeyawagira ekikolwa eky’okumutta, oluvannyuma lw’okuteebereza nti Susan Magara singa ayiimbuddwa nti yali abeetegerezza ng’era yali asobola okubalonkoma bonna abaali bamuwambye nebasaba sente bazadde be.
Abalala 7 obujulizi obubaluma bwalaga nti betaba mu bikolwa ebyenjawulo ebikwatagana n’okumuwamba, wabula nga tebeetaba butereevu mu kutta.
Bano kuliko Lubega Yusuf, Wasswa Huseein, Ssali Muzamir, Kato Hassan Miiro, Kisalita Muhad, Kyewolwa Abubakar ne Bukenya Ismail.
Oluvannyuma lw’okutta Magara, omulambo gwe baagusuula e Kitiko-Birongo ku luguudo lwa Entebbe Express Highway.
Omulamuzi Ajiji era alagidde wofiisi ya Ssaabawaabi w’emisango gya government okubowa ebintu byonna abatemu byabaali baagula mu nsimbi ezaabaweebwa Taata wa Susan Magara nga bamusuubizza okuyimbula muwalawe , wabula oluvannyuma nebamutta ng’amaze okuzibawa.
Ebizibiti kuliko ettaka lyebaagula e Buikwe ne Luweero, saako emmotoka 11, ziddizibwe ab’oluganda lwe.
Bisakiddwa: Betty Zziwa










