Radio ya Buganda CBS Fm ng’eri wamu n’Omukutu gw’ebyempuliziganya ogwa MTN Uganda ,etongozza Empaka z’Okuvuganya mu Lulimi Oluganda , ez’Entanda ya Buganda 2026.
Empaka z’Omulundi guno zongeddwamu akapya, ng’Omuzira mu bazira wakufuna ettaka okuzimbiddwa ebibiina by’Essomero lya secondary Bisatu, ebigenda okuzimbibwa Omuzira wa CBS 2009 Ronald Mulondo, nga ye Kangaawo akulembererako Kabaka essaza Bulemeezi
Entanda ya Buganda 2026 etongolezeddwa ku ssomero lya St.Peter’s Bombo Kalule mu Bulemeezi.
Kubaddeko n’Okukwasa Omuzira wa 2025 ekyapa ky’ettaka n’ebirabo ebirala.
Ssenkulu wa CBS Omuk.Michael Kawooya Mwebe, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutandikawo Radio ate neteeka mu nkola ebiragiro bye
Omuk Kawooya Mwebe yebazizza Omuzira wa CBS 2009 Kangaawo Omulangira Dr. Ronald Mulondo,olw’okuweesa Radio ya Kabaka ekitiibwa nga ayongera Omutindo ku ssomero ,n’Okukulaakulanya Olulimi Oluganda.
Kangaawo Omulangira Dr.Ronald Mulondo era nga ye Muzira wa CBS 2009 ,yeeyanzizza Ssaabasajja olw’okwolesebwa kw’Okutandikawo Radio CBS, era neyeebaza Radio y’Embuga obutasuulirira nga Baana baayo.
Kangaawo asabye abagenda okumeggana omwaka guno 2026, okunoonyereza ennyo, mungeri eyenjawulo naasaba abaweereddwa ebitabo ebivudde mu kuvuganya kw’Omaka 2025 okubikuuma obutiribiri, era babikozese bulungi babiganyulwemu.
Ronald Richard Ddamulira ku lwa MTN Uganda yeeyamye nti baakusigala nga bakolagana ne Radi ya Beene CBS, okwongera okutumbula Obuwangwa, Olulimi nÉnnono.
Ssentebe w’Olukiiko lw’Abazira ba CBS era nga ye mutandisi w’Essomero Smiling Star Junior School Buloba Omuzira w’Omwaka 2005 John Mary Kaye Ddamba, yebazizza abaddukanya Radio ya Kabaka CBS olw’ekiteeso ky’okutongoleza Entanda ya Buganda mu Masomero g’Abazira, ekigenda okugayamba okufuna ettutumu.
Omuzira wa CBS 2025 Basajja Mivule John aweereddwa Ekyapa ky’Ettaka, Pikipiki Kapyata , amasannyalaze.g’amaanyi g’enjuba, n’ensimbi Obukadde Butaano okuva mu MTN.
Ssewanyana Mathew eyakwaata ekyokubiri afunye Pikipiki Kapyatqm, amasannyalaze g’enjuban’Obukadde bwa shs busatu.
Mu balala abafunye ebirabo mubaddemu Nsobya George eyakwaata ekyokusatu, Mukooza Julius eyakwata ekyokuna, Nanyunja Hasfah eyakwaata ekyokutaano, ne Ntojjo David eyamalira mu kyomukaaga.
Bisakiddwa:Kato Denis











