Omuzannyi w’omupiira abadde mpagi luwaga mu ttiimu Bulemeezi RogerS Ssebyondya avudde mu bulamu bw’ensi eno.
Okusinzira ku akulira eby’ekikugu ku ttiimu y’essaza Bulemeezi, Juma Kasolo, agambye nti okufa kwa Rogers Ssebyondya kuvudde ku buvune bwe yafunye mu mupiira, Bulemeezi bweyabadde ettunka ne Kyaggwe ku Sunday nga 02 August,2026.
Omupiira guno gwazannyiddwa mu kisaawe kya Kasana Luweero, era Kyaggwe yaguwangudde goolo 1-0 eyateebwa David Mugalu.
Wabula mu mupiira guno Roger Ssebyondya yatemeragana n’omukwasi wa goolo ya Bulemeezi ekyamuviriddeko okufuna obuvune.
Rogers Ssebyondya afiiridde mu ddwaliro e Mulago.
Rogers Ssebyondya ajjukirwa nnyo okuyambako Bulemeezi okuwangula ekikopo kya Masaza ga Buganda mu 2019 mu kisaawe e Namboole, nga Bulemeezi yakuba Busiro goolo 1-0.
Bulemeezi mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omwaka guno egenda kuazako okukyalira Gomba ku Sunday nga 08 August,2026 mu kisaawe e Kabulasoke.









