Omuddusi w’emisinde Charity Cherop awangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletics Championships, ez’abali wansi w’emyaka 20 egiyindira mu America.
Omudaali guno Charity Cherop aguwangudde mu misinde gya mita 5000 nga agiddukidde edakiika 15:03:88.
Guno gwe mudaali ogw’okubiri omuddusi omukazi munnauganda gwawangudde mu mpaka zino, nga wabadde wakayita emyaka 25 nga Dorcus Inzkulu ye yasooka okuwangula zaabu mu Santiago e Chile.
Charity Cherop era agenda kukomawo mu kisaawe ku Saturday nga 08 August,2026 okulwana okuwangula omudaali gwa zaabu ogw’okubiri mu misinde gya mita 3000.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












