Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza ekitabo Obuwangwa N’ennono ekiwandiikiddwa Omutaka Maweesano Omukulu w’ekika kya ŋŋaali Jjajja Deus Kyeyune Kukeera.
Bwabadde atongoza ekitabo kino mu Bulange e Mengo, Katikkiro Mayiga asabye abantu okwongera okwettanira okusoma ebitabo badibye enjogera egamba nti bwoba olina kyoyagala okukweka omuddugavu, kiteeke mu buwandiike.
Mu ngeri yeemu akoowodde abataka abakulu b’ebika abalala nabo okwenyigira mu nsonga yeemu eyokuwandiika ebyafaayo byaffe bireme okusaanawo.
Minister w’obuwangwa, Ennono, Amasiro, Embiri, Ebyokwerinda n’Olulimi Oluganda Owek. David Kyewalabye Male yebazizza omutaka Maweesano olwokuwandiikira obuganda bwonna natasosola mu bika n’amwebaza n’obukulembeze obulungi mu kika.
Omutaka Maweesano Deus Kyeyune Kukeera anyonyodde amakulu g’ekitabo kino eri Obuganda omuli okugunjula abaana, okutumbula ebyobulamu mu maka, okutumbula n’okukuuma eby’obuwangwa, okujjumbira emIrimu mu bika, okukuuma n’okunyweeza Nnamulondo n’ebirala.
Omutaka asabye Katikkiro ne government ya Kabaka bafeeyo okumanya ebifa mu bika ebyenjawulo naddala ebyo ebisirise ennyo bireme kuzikirira, n’okuduukirira abataka nebyetagisa mu kunoonyereza ku bika byabwe.
Omukolo gwetabyeko abataka abakulu b’ebika abalala bangi wamu nebakatikkiro babwe nga bakulembeddwamu Ssentebe w’olukiiko lw’abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba ne bazzukulu ba Maweesano bangi ddala.
Ku mukolo gwegumu n’ekifaananyi kya Maweesano ekitongole kitongozeddwa n’omulanga eri bazzukulu be bonna okukifuna bakiganzike mu maka gabwe ne offiisi zabwe.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen.