Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye government eyaawakati atuukirize obweyamo, ekomyewo ebintu by’Obwakabaka byonna .
Katikkiro abadde asisinkanye bannamawulire mu Bulange e Mengo, okukuba tooki ku bituukiddwako mu bbanga ery’emyaka 10 nga yaalina Ddamula.
Katikkiro agambye nti Buganda ekyabanja ettaka erya Mayiro 9000, ebibira bingi, amasomero n’amatendekero,wamu n’emigabo egiri mu kampuni ezenjawulo ebisobola okusenvuza Buganda okutuuka ku biruubirwa byayo.
Awadde government amagezi eyabulire ebizimbe by’Obwakabaka byonna, oba ebipangise ng’esasula , oba efune liizi ku ttaka Obwakabaka.
Katikkiro bwatuuse ku bisomoozo byafunye mu myaka 10 ng’aweereza Obuganda, ategeezezza nti abaana Obutasoma, obutayambala ngatto mu Masomero n’Obulwadde bwa Mukenenya obwefuze ebitundu bya Buganda naddala mu bizinga, kyekimu ku bimutawaanya obwongo.
Yebazizzaa Beene olw’okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa Mukenenya.
Ssaabasajja ye munyeenye ya Uganda ne ssemazinga wa Africa mu kulwanyisa siriimu
Katikkiro Mayiga era asabye government eyawakati okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, n’okukomya okutulugunya abantu ababa basazeewo okulaga obutali bumativu ku nsonga ez’enjawulo.
“Obutassa kitiibwa mu ddembe ly’obuntu, kye kimu ku bizingamya enkulakulana, era ekintu ekiyinza okukuumira government mu buyinza kwe kukolagana obulungi n’abantu. Ekkubo ettuufu ye government okuwa buli muntu ekyanya okwenyumiriza mu kyakkiririzaamu”
Katikkiro yebazizza nnyo abakulembeze beyaddira mu bigere kubwakatikkiro olw’okuteekawo omusingi ng’abakulembeze abaliwo kwebatambulizza obuweereza.
Katikkiro era ategeezezza nti mu myaka 10 ekisinga okumuzaamu amaanyi,; kwekuba nti abantu bafunye esuubi era bangi mu kaseera kano baliko emirimu gyebakola omuli okulima emmwanyi n’ebirime ebirala mwebaggya ensimbi okuweerera abaana babwe, okubambaza ate n’okufunira abobumaka gabwe ekyokulya.
Katikkiro akkubiriza abantu mu Buganda okwongera okujjumbira okukola emirimu gyebalinamu enkizo naddala egyesigamye ku bulamu.
Mu ngeri eyenjawulo Katikkiro asabye abantu ba Kabaka obutakoowa Kulima ,okulunda n’Obuyiiya obwenjawulo, mungeri yeemu naabasaba okuwagira government eya wakati nga bawa omusolo.