Bya Kato Denis
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannabyaabufuzi okwetoloola eggwanga obutatwala byabufuzi nga akadaala ka katemba n’emizannyo, wabula babikozese okusitula embeera z’abantu.
Bino abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne bannabyaabufuzi okuva mu kibiina kya Alliance for National Transformation ANT abamukyalidde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro agambye nti bannabyabufuzi bakyalemeddwa okumanya ekiseera eky’okulwanira obuyinza, n’ekiseera eky’okuweereza abantu nga basinziira ku bibaluma nga tebesigamye ku langi za byabufuzi.
Katikkiro azzeemu najjukiza bannabyaabufuzi okumanya nti Ssabasasajja y’entabiro y’Obwakabaka era tasosola mu mawanga yadde eddiini.
Wano wasabidde bannabyabufuzi okufaayo nnyo eri ebitundu gyebava n’mawanga gabwe.
Agambye nti ebizibu ebikosa bannauganda bye bimu, wabula byawukana mu buzito bwabyo, n’olwelyo bannabyabufuzi balina okuwaayo akadde okunogera eddagala ebizibu bino wamu, nga tebefaako bokka.
Wabula Katikkiro agambye nti bannabyabufuzi abalina obuntu bulamu bebasobola okufaayo eri abantu bebakulembera.
Yebazizza president wa ANT Mugisha
Muntu olw’okubeera omuntumulamu,nagamba nti buweereza bwe tawulirwangako mu vvuluvu yenna,bweyali omuduumizi w’amagye nebwayingidde eby’obufuzi.
Rtd Maj Gen Gregory Mugisha Muntu abuulidde Katikkiro ebigendererwa by’ekibina ki Alliance for National Transformation, nti bagenderera kutereeza buweereza obusaanidde eri bannauganda omuli eby’enjigiriza, ebyenfuna n’Ebyobulamu.
Agambye nti singa ebisomooza ebyo ebisatu tebissibwako ssira,bannauganda tebayinza kweyagalira munsi yabwe.
Mungeri eyenjawulo Maj Gen Mugisha Muntu atenderezza Obwakabaka okulowoozanga ennyo ku kugatta abantu n’Okubabangula mu nteekateeka z’enkulakulana.
Mugisha muntu abadde awerekeddwako eyakulirako oludda oluvuganya mu parliament Winnie Kiiza n’abalala.
Mu nsisinkano eno mwetabiddwamu minister w’obuwangwa,embiri n’ebyobulambuzi Owek.Kiwalabye Male ne minister omubeezi ow’a government ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki.