Abavubuka ba Buganda mu ngeri ey’enjawulo bayozaayozezza Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’emyaka kkumi ng’akutte Ddamula alamulirako Ssaabasajja Obuganda.
Mu nsisinkano ebadde ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka mu Bulange e Mengo, abavubuka nga bakulembeddwamu ssentebe wa Buganda Youth Council olukiiko olukulu olukulembera abavubuga mu Buganda, Baker Ssejjengo, beebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubeera eky’okulabirako ekirungi gyebali mu buweereza bwe, n’obukulembeze obw’omutindo.
Ku lw’abavubuka Ssejjengo agambye nti Katikkiro bamuyigiddeko bingi naddala okunywerera ku nsonga ne mu bugubi okutuusa nga bagiggusizza n’evaamu ebibala.
Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri abavubuka bano, abayitiddeyitidde mu lugendo lwe olw’emyaka 32 ng’aweereza mu Bwakabaka mu buvunaanyizibwa obw’enjawulo okuli n’emyaka 10 egy’obwakatikkiro.
Agambye nti mu myaka gino gyonna abadde akulembeza Obuntubulamu, Obunyiikivu n’obugumiikiriza by’agambye nti oba oli awo Ssaabasajja kweyava n’amusiima okumuwa Ddamula amulamulireko Obuganda.
Akuutidde abavubuka bulijjo okusalawo amangu kyebaagala ate n’okulafuubana okukituukiriza nga bakulembeza Obuntubulamu, n’obwesigwa mu bantu ne ku mirimu.
“Obuvubuka gwemuyungiragano, wakati w’emitendera ogw’obuto n’ogwokusajjakula, oba okukaziwala, era gwemusingi asajjakudde oba akaziwadde kwazimbira obulamu bwe. Mu buvubuka omuntu waategeerera omugaso gw’okubeera omuntumulamu…”
Abakuutidde okunywerera ku Kabaka wabwe n’okugondera ebiragiro bye, ne Federo gyebayaayaanira lwebanaagifuna.
Abeebazizza nnyo okumusiima nga mulamu.
Bamutonedde amantambutambu ag’entebe n’emmeeza, nebasala ne keeki.
Omubaka wa Nakaseke Central mu Parliament Allan Mayanja Ssebunnya nga yaliko omuwandiisi mu lukiiko lw’abavubuka ba Buganda, asabye Katikkiro akulemberemu olutalo lw’okufuna Federo mu bukulembeze bw’ennono bwonna mu Uganda olwo buli kitundu kyekolere ku nsonga zakyo.
Mayanja agambye nti bo nga bannabyabufuzi naddala abali mu Parliament, eddoboozi lyabwe ku nsonga za Federo lijja kwongera okuwulirwa ssinga lifuna omuzinzi okuviira ddala e Mengo mu bukulembeze bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Kkansala Hakim Ssawula owa Lubaga North mu Kampala Capital City Authority era minister avunaanyizibwa ku by’okuzimba mu kibuga Kampala, nga naye yaliko ku lukiiko lwa Buganda Youth Council agambye nti Obukulembeze bwa Katikkiro babayigirizza kinene nnyo naddala mu nsonga z’ebyobufuzi byebalimu ekibayambye okuweereza obulungi abantu abaabalonda.
Ensisinkano eno yeetabyemu abakiise b’abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda okuli Owek. Dr. Rashid Lukwago, Owek. Israel Kazibwe akiikiridde minister w’abavubuka, Eby’emizannyo n’okwewummuzaamu Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu agambye nti mu myaka 10 egya Katikkiro Mayiga, batambudde bulungi ng’abavubula naye era abavubuka bangi wakati mu bugubi bakyusiddwa mu nneeyisa n’endowooza.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima n’akwasa musajja we Owek. Charles Peter Mayiga Ddamula ng’ennaku z’omwezi 29 May 2013 mu mukolo mawuuno ogwali ku Wankaaki w’olubiri e Mengo.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.