Katikkiro Charles Peter Mayiga yeeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okumwesiga n’asiima n’amukwasa Ddamula amulamulireko Obuganda kati emyaka 10.
Abadde mu kitambiro kya Mmisa mu Lutikko e Lubaga okwebaza Katonda olw’emyaka gino 10 nga ye Katikkiro wa Buganda.
Ssaabasajja Kabaka yasiima náyatula erinnya lya Charles Peter Mayiga nga 12.05.2013 mu Lubiri e Mengo, era námukwasa Ddamula.
Mu mmisa yeemu n’omukungu Paul Ssembatya Mulundannume owa Buganda Twezimbe agattiddwa ne kabiite we Milly Nakibaala mu bufumbo obutukuvu.
Emmisa ekulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemoogerere.
Katikkiro oluvudde mu mmisa asembezza abagenyi be mu Butikkiro amaka ge amatongole nga Katikkiro.
Abagenyi ba Katikkiro ne mukyala we Margret Mayiga mubaddemu Omulangira David Kintu Wasajja nómukyala, eyaliko omumyuka wómukulembeze wéggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, ba Nnaalinnya, ba minister ba Buganda, abaami bámasaza, ba ssentebe nábakulira ebitongole mu bwakabaka, bannaddiini nábantu abalala bangi.