Olwa leero lwegiweze emyaaka 10 beddu nga Katikkiro wa Buganda munnabuddu Charles Peter Mayiga akutte Ddamula, okulamulirako Ssaabasajja Kabaka Obuganda.
Nga 12.5.2013, Maasomooji Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll yasiima n’akwasa musajjawe Charles Peter Mayiga Ddamula, bweyamwatula erinnya nadda mu bigere bya Owek Eng John Baptist Walusimbi.
Emyaka 10 egiyise, Katikkiro bweyali akwasibwa ddamula, yalangirira ezimu ku nteekateeka zeyali ayagala okutandika nazo; omwali okununula ennyumba y’Obwa Katikkiro Butikkiro, okwanjulira Obuganda entekateeka Nnamutayiika omwali Ensonga ssemasonga ettaano Buganda zeyetaaga okutandika olugendo olugitwala ku Ntikko, era nga bino byonna biriko webituuse.
Katikkiro mu lugendo lwe olw’emyaka ekkumi agamba nti aliko watuusizza Obwakabaka nga akolaganira wamu n’abaami Ssaabasajja beyamukwasa, omuli abatongole, ab’emiruka, abaami b’Amagombolola, abaami b’Amasaza wamu ne Ba minister era bataddewo enkyukakyuka ezirabwako mu Bwakabaka.
Ebimu ku birabwako ebikoleddwa mwemuli okumaliriza ekizimbe Masengere ekyali kimaze emyaka egisoba mu 40 nga kizingamye, okununula Butikkiro, okutandikawo project ezenjawulo omuli Emmwanyi Terimba ezisitudde ebyenfuna by’abantu ba Kabaka.
Okuzimba Amasiro ga Bassekabaka e Kasubi aganaatera okugibwaio engalo, Okutandikawo omukutu gw’ebyempuliziganya ogwa BBS Terefayina eyava mu ntekateeka y’Ettoffaali, n’ebirala bingi.
Enkola eno ey’ettoffaali gyasinze okwesigamako okutuuka ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka ab’ebiti ebyenjawulo, mu bitundu yonna gyebali ng’abatusaako obubaka obuva embuga okubazaamu essuubi mu byonna byebakola.
Mu bantu abo abadde tavaayo ngalo nsa, babadde bamusibirira ettu ery’okuyambako okukola emirimu gy’obwakabaka emirala.
Katikkiro mu kuweza emyaka 10 ng’akutte Ddamula ,agamba nti oluvannyuma lw’ebimu ku bituukiddwako okuba nga biwadde abantu essuubi, yebaza abakulembeze abaasookawo abaasima omusingi ogw’okukumaakuma abantu ba Kabaka nga bali bumu, era nti wakyaliwo obwetaavu bw’okubikuuma byongere okuganyula Obwakabaka ne Uganda yonna.
Katikkiro agamba nti okutuusa Buganda mu kifo ekyegombesa ssi mulimu mwangu, nga mulimu okusitula eby’obulamu Ssabasajja kwatadde essira, eby’enjigiriza, ebyenfuna by’abantu ba Kabaka, n’obukulembeze bw’abaweereza ba Kabaka Obuggumidde.
Ebimu ku bintu ebirala Katikkiro byeyenyumiririza mu buweereza bweyaakamalamu emyaka 10; mulimu Obwakabaka okufuna bannamikago ab’enkizo, Ssaabasajja okusiima naafunira abaami be ab’Amasaza entambula ey’Emmotoka, abaami b’Amagbolola nebafuna pikipiki nekyanguya obuweereza.
Katikkiro agamba nti mu myaka 10 ng’akutte Ddamula, Buganda ekolaganye bulungi be government eyawakati mu ntekateeka ezenjawulo omuli ez’ebyobulamu, ebyemizannyo n’ebirala.
Wabula agamba nti waliwo Buganda byekyabanja omuli Ettaka, ebizimbe, ebibira, amasomero n’amatendekero agenjawulo, agakyaali mu mikono gya government byagambye nti Buganda bikyaagiri ku mutima ebyetaaga.
Bikungaanyiziddwa: Kato Denis