Omujulizi KALOOLI LWANGA yoomu mu bajulizi ba Uganda 22 abajjukirwa mu nzikiriza ya klezia katulika.
Bano be bajulizi abaaviirako ebijaguzo bya 03 June buli mwaka e Namugongo Wakiso mu Uganda.
Kalooli Lwanga yali Muganda nga yeddira Ngabi.
Kitaawe yayitibwanga Mabingo omukomazi.
Kalooli yazaalibwa mu 1861 e Biriinzi mu Buddu.
Yali musajja mweru ng’alina ekiwago era omumegganyi nnamige!
Kalooli Lwanga yeeyali Omumbowa wa Kabaka Mwanga omukulu era ng’ayogerwako ng’eyakulemberanga banne obulungi.
Yasoma eddiini neemuyingira era n’agisomesa n’abalala.
Mu biseera weyattirwa, Kalooli Lwanga yayolesa obuvumu obutagambika era ku ye bangi ku bambowa kwebaagumira nabo okutuuka okwewaayo bafiirire eddiini.
Abakulu mu lubiri bwebaalaba obugumu Lwanga bweyayolesa, kwekumwawula ku banne era n’atwalibwa e Namugongo nassibwa ku nku n’ayokebwa okuva ku bigere okutuuka lweyasaanawo.
Wabula kigambibwa nti bweyali ayokebwa teyakaaba wadde okwegayirira asonyiyibwe.
Ebyafaayo biraga nti Lwanga mu kifo kyennyini weyayokerwa wewaazimbibwa Ekiggwa ky’Abajulizi Abakatuliki.
Yayokebwa nga 3 June 1886 bwezaali zikunuukiriza okuwera ssaawa mukaaga ez’omuttuntu.
Mu kiseera ekyo, yali aweza emyaka 25 egy’obukulu.
Kigambibwa nti yayokebwanga yeegayirira Katonda, nti abaamwokya ne Kabaka bamanye amazima bakkirize Obulokozi era babatizibwe.
Omujulizi Omutuukirivu Kalooli Lwanga ye muwolereza w’abavubuka ba Africa.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K