Obwakabaka bwa Buganda butongozza emisinde egy’okukuza amazaalibwa ga Ssabasajja Kabaka eg’emyaka 67, gigenda okubeerawo nga 03 July, 2022 mu Lubiri e Mengo.
Mu kusooka emisinde gino gyali gyakubeerawo mu April omwaka guno, wabula Omuteregga yasangibwa ali mitala wa mayanja ku mirimu emitongole.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga, yaatongozza emisinde gino mu Bulange e Mengo, nasaba abantu ba Buganda okujjumbira okugula emijoozi gino gyebanaddukiramu.
Agambye nti emisinde gy’omwaka guno gigendereddwamu okwongera okulwanyisa mukenenya mu Buganda ne Uganda yonna.
Emisinde gino gigenda kubeera gya mulundi gwa 9 okuva lwe gyatandika mu 2014, nga emyaka egyasooka 3 gyali gyakulwanyisa fistula, emyaka 3 egyaddako kulwanyisa sickle cell ate emyaka 3 egigenda okugwako gyakulwanyisa mukenenya.
Ssentebe w’olukiiko olutongozeddwa okuddukanya emisinde gy’omwaka guno 2022, ye Owek Al Hajji Twaha Kawaase Kigongo omumyuka asooka owa Katikkiro, amumyukibwa Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, omuwandiisi ye ssenkulu wa majestic brands Remmy Kisakye, Owek Dr Prosperous Nankindu Kavuma, Owek Noah Kiyimba ne Maj Stanley Musaazi.
Abavugurizi abakulu ab’emisinde gino kuliko Airtel, DFCU,UNAIDS, CBS ne BBS.
Ssenkulu wa CBS omukungu Michael Kawooya Mwebe yeyamye ku lw’abavujjirizi abalala okuwagira emisinde gino ewatali kuddiriza.
Ssenkulu wa Majestic Brands, Remmy Kisakye, agambye nti ku mulundi bafulumiza emijoozi emitwalo 8, buli gumu gwa shs 15,000/-
Emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka 2022 gitundibwa ku
maduuka ga Airtel ku Park Empya , Shoprite Building Ben Kiwanuka Road, ne ku Thobani Centre, mu Bulange ne ku Masengere e Mengo.
Osobola n’okugugula ng’okozesa Airtel Money.