Nga yakajaguza emyaka 44 egy’obuto, n’emyaka 6 nga Nnyininsi Sseggwanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Namulondo mu 1999, yasiima n’atandikawo ettendekero ery’ebyemikono erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education.
Ettendekero lino lisangibwa Mengo Kakeeka, nga litendeka abaana ba Uganda emirimu gy’ebyemikono.
Mu kiseera kino Obuganda buli mu ketereekerero k’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwe 70.
Amazaalibwa ga Nnyininsi Sseggwanga Musota Ccuucu gakuzibwa buli nga 13 April.
Waliwo ebikujjuko bingi ebitegekeddwa okukuza amazaalibwa, omuli n’emisinde Mubunabyalo egigenda okusimbulwa nga 06 April,2025 mu Lubiri e Mengo, olwo gisaasaanire ebitundu ebirala okwetoloola ensi.#