Police y’ebidduka mu Kampala efulumizza ennambika y’entambula y’ebidduka egenda okugobererwa abantu abagenda okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egigenda okuddukibwa enkya ku Sunday nga 16 April,2023.
Ennambika y’ebidduka efulumiziddwa, eraza nti oluguudo lwa Ring Road olwetoloola olubiri n’oluguudo lwa Kabaka Njagala zigenda kuggalwa eri abagoba b’ebidduka, okusobozesa abaddusi okudduka obulungi.
Bw’abadde afulumya ennambika eno mu lubiri e Mengo oluvanyuma lw’olukiiko lw’eby’okwerinda olutudde gyerutudde, Rogers Nsereko Kawuma nga y’addumira police y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano alambise ku nguudo abantu abayingira e Kibuga zebagenda okukozesa.
Awabudde abagoba b’emmotoka okwewala okuyitira mu nguudo zomu Lubaga, nti kubanga ezisinga zigenda kuggalwa so ngeera zezisuubirwa okubaako abaddusi abangi mu biseera byoku makya.
Rogers Nsereko Kawuma agambye nti abantu abanaayingira n’emmotoka mu Lubiri balina kuyitira mu mulyango oguva mu Ndeeba gwokka.
Luke Oweyisigire amyuka omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano agumiza abaddusi abagenda okwetaba mu misinde gino nti eby’okwerinda byabwe bigenda kunywezebwa.
Essaza Ssingo nalyo lifulumizza maapu y’enguudo ezigenda okuyitibwamu abantu abagenda okusimbulwa ku kitebe ky’essaza ku Matutuma mu district ye Mityana.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico