Banna byamizannyo abegattira mu kibiina kya Real Sports Agency, balonze omuteebi wa ttiimu y’eggwanga eyabazannyi abatasussa myaka 17 eya Uganda Cubs, James Bogere, ng’omuzannyi asinze okucanga endiba omwezi oguwedde ogwa December,2024.
James Bogere yali musaale nnyo mu kuyambako Uganda Cubs okuwangula empaka za AFCON U17 CECAFA Zonal Qualifiers ezaali mu Uganda, era ono yeyasinga okuteeba goolo ennyingi zaali 7.
Bogere mezze banne okubadde Allan Okello owa Vipers ne Jude Ssemugabi owa club ya Kitara.
Mu muzannyo ogw’okubaka, omuzannyi wa She Cranes Margaret Bagaala yasinze okukola obulungi, amezze Mary Nuba ne Ayaa Gloria.
Margret Bagaala yayambako She Cranes okukwata ekifo eky’okubiri mu mpaka za Africa Netball Championships ezaali e Namibia.
Mu muzannyo gw’ebikonde Nuuhu Batte yawangudde, era amezze Owen Kibira ne Ezra Ssali.
Abawanguzi bafunye ensimbi enkalu n’engule ezibasiima.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe