Club ya NEC egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, ekaanyizza n’omuteebi Hudson Mbalire, okubegattako mu kwetegekera season ejja eya 2025/26.
Hudson Mbalire abadde muzannyi wa club ya Wakiso Giants eyasaliddwako okuva mu Uganda Premier League n’eddayo mu liigi yawansi eya FUFA Big League.
Hudson Mbalire bamuwadde endagaano ya myaka 2 ng’acangira NEC endiba.
Club ya SC Villa, KCCA ne Bull FC nazo zaali zimwegwanyiza.
NEC eri munteekateeka ez’okwetegekera okukiikirira Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Confederations Cup season ejja, oluvanyuma lw’okukwata ekifo eky’okubiri season ewedde.
Hudson Mbalire okugenda mu club ya Wakiso Giants, yava mu mpaka za Masaza ga Buganda, era yali musaale nnyo mu kuyambako ttiimu y’essaza Buddu okuwangula ekikopo ky’omwaka oguwedde 2024, wabula era yazannyirako ne ttiimu y’essaza Kkooki.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe