Ministry yeby’entambula ekaanyizza era newagira bannyini mmotoka z’olukale ezisaabaza abantu okwongeza ebisale byentambula ,olw’ebbeeyi y’amafuta eyekanamye.
Olunaku olweggulo abakulembeze n’abagoba b’emmotoka ez’olukale okuli taxi ne bus baasazeewo okwongeza ebisale byentambula.
Ensimbi ezaayongeddwamu ziri wakati wa shillings 500 eri engendo ennyimpi ne 5000 eri engendo ezeewala.
Minister omubeezi ow’ebyentanbula Fred Byamukama mu kiwandiiko kyafulumizza anyonyodde nti yadde obuvunanyizibwa bwokulambika ebyentambula n’enguudo bwa ministry eno eyebyentambula, mu kiseera kino olw’embeera y’amafuta eyekanamye ministry terina ngeri gyeyinza kugaana bannanyini mmotoka z’olukale okwongeza ebisale.
Minister Byamukama agambye nti ministry yatunudde mu miwendo egyayongezeddwa neraba nti tegyeraliikiriza nnyo.
Engendo zomu Kampala zayongeddwamu shillings 500 ,engendo ezisuka kilometers 35 ebisale ebibaddewo byayongeddwamu shillings 1000.
Engendo eziri wakati wa kilometer 40 ne 100 ebisale zongeddwamu shillings 2000.
Engendo eziri wakati wa kilometer 100 ne 130 shillings 3000 zezayongeddwamu, songa engendo empanvu ddala okuva ku kilometer 140 nookweyongerayo bazongeddemu shillings 5000.
Minister Fred Byamukama agambye nti ministry ye yakwongera okulondoola abagoba b’emmotoka zino okulaba nti tebadduumula miwendo gyabisale, okuva kwebyo byebaalambise.
Giweze kati emyezi esatu bukyanga bbeeyi y’amafuta etandika okulinnya okuva ku shs 3600 aga petrol okutuuka ku 5300 mu kiseera kino.
So nga diesel naye alinnyidde ddala okuva ku shs 3400,kati wakati wa 5400 n’okudda waggulu okusinziira ku kitundu gyoba omuguze.
Okulinnya kw’amafuta tekukomye kulinnyisa bisale bya ntambula byokka, wabula n’ebbeeyi y’ebintu ebirala buli olukya yeyongera kwekanama, wabula nga waliwo n’abamu ku basuubuzi abakozesezza akakisa kano okulinnyisa ebbeeyi nga bwebaba baagadde okwekolera ku magoba agawera.
Embeera eno ereetedde n’abaguzi abamu okukaluubirirwa okulamuza n’okusaba babasalireko ku bbeeyi, kubanga ebbeeyi y’ebyamaguzi ebyenjawulo entuufu temanyiddwa.