Ministry ya Kampala efulumizza amannya g’abantu ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority bekyawadde obuvunanyizibwa obw’okukiyambako okuddukanya obutale bwa government bwonna obuli mu Kampala.
Eno yeemu ku nteekateeka ekoleddwa oluvannyuma lwa president Yoweri Kaguta Museveni kulagira abantu ababadde balina offiisi ezittali za KCCA nga beyita abakulembeze b’obutale okuzigya mu buttale bunambiro.
Amannya g’abantu agafulumiziddwa gateereddwa mu butale bwa KCCA bwonna e 16 obuli mu Kibuga Kampala, omuli aka City Abattoir, Namuwongo, St Balikuddembe Owino, Kamwokya, Bukoto, Nateete, Busega, Nakawa, Luzira, Kiswa, Bugoloobi n’obulala
Minister wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda abadde ku Media Centre mu Kampala, n’ategeeza nti abakozi ba KCCA bano balondeddwa nga besigama ku mateeka ga Ministry y’abakozi eya Public service.
Balondeddwa okusinziira ku buyigirize bwabwe nga bonna bali ku daala lya Diploma ne Degree, era bakusasulwanga government.
Abakozi bano batandikiddewo emirimu gyabwe, baweeredda wiiki bbiri okuba nga bakoze enkalala z’abasuubuzi bonna abakolera mu butale obwo.
Hajjati Minsa Kabanda ategezeza nti Obukiiko obukadde bwonna n’ebibiima by’obwegassi byonna ebibadde mu butale tebulina kusigala munzirunkanya ya butale.
Hajjati Minsa Kabanda era ategezezza nti abakozi ba KCCA abateereddwa mu butale balina okussa essira ku buyonjo bw’obutale bwonna, n’okulaba ng’entalo zigwerawo ddala mu butale.
Mu mbeera yemu Hajjati Minsa Kabanda alagidde ab’ekitongole Kya KCCA okulaba nga tewali muntu mulala yenna akkirizibwa kukunganya Ssente za mpooza mu butale buno.
Agambye nti abantu abakolera mu butale bakusasulira Ssente z’ebintu byebakozesa naddala eza Kasasiro, amazzi n’ebirala okusinziira ku bunene bw’omuddaala gw’omuntu
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico