Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde government amagezi nti amaanyi geetadde mu by’okusima amafuta egateeke ne mu birala eggwanga byeririnamu enkizo ng’ebyobulimi.
Katikkiro abadde alambula enviro Serve ekifo ekyatekebwako ng’ekkeberero n’essengejjero ly’ebisejja ebiva mu mafuta agagenda okusimwa mu bitundu bye Bunyoro.
Alambuziddwa oluzzi lw’amafuta olwa Kingfisher e Kikuube mu Bunyoro, okumpi n’ennyanja Muttanzige ne Tilenga Project Area nayo waliyo amafuta.
Katikkiro agambye nti ebifo awagenda okusimwa amafuta biteekeddwako amaanyi, ebintu ng’amasanyalaze, enguudo,amasomero, amalwaliro n’ekisaawe ky’ennyonyi bizimbiddwa okwanguya obulamu, bwatyo nasaba ne ku bintu ebirala wabeewo okufaayo kwekumu.
Katikkiro asabye ministries zonna okukola enteekateeka eziganyulwa abantu bonna mu mafuta, nti kubanga gasobolera ddala okukyusa ebyenfuna n’obulamu bwa banna Uganda singa eggwanga lyeteekateeka bulungi.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek Rotarian Robert Wagwa Nsibirwa, ategeezezza nti obwakabaka buwuliziganya nabagenda okuzimba omudumu ogunaatambuza amafuta okuva e Hoima okutuuka mu Tanzania, okulaba nga waliwo ebikolebwa nga byakuganyula abantu mu bitundu bya Buganda awagenda okuyita omudumu.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred