Ttiimu y’essaza Gomba ebyayo bongedde okuba ebibi mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka 2025, bwekubiddwa omupiira ogw’okubiri ogw’okuddiηηanwa.
Ssese erumbye Gomba omwayo mu kisaawe e Kabulasoke n’egikubirayo goolo 1-0, kyokka nga Buddu ye yasooka okukuba Gomba e Masaka era goolo 1-0.
Omupiira guno gubadde gwa bunkenke ddala, nga nabawagizi ba Gomba bavudde mu mbeera nga bagaala okugwa omutendesi wabwe mu malaka Simon Ddungu, era nga bwebamuwerekereza ebigambo nti abaviire.
Kakaano Gomba ye ttiimu y’essaza yokka omwaka guno etanafunayo yadde akabonero mu mpaka z’omwaka guno, era bali mu kibinja Bulange.
Emipiira emirala mu kibinja Bulange Busiro egudde maliri ne Buddu goolo 1-1 e Ssentema, ate nga Buluuli egudde maliri ne Busujju goolo 1-1 e Migyera.
Mu kibinja Muganzirwazza Ssingo egudde maliri ne Kyaggwe 0-0 ate nga mu kibinja Masengere, Bulemeezi egudde maliri ne Mawokota 0-0.
Mu kibinja Masengere Buweekula egudde maliri ne Bugerere 0-0 e Mubende, Kkooki ekubye Mawogola goolo 2-1 e Kasambya Kyotera.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe