Minister w’ebyobulimi n’Obwegassi mu Buganda Owek.Kakomo annyonyodde nti essuubi likyali lyawaggulu nnyo nti emmwanyi zaakwongera okukyusa obulamu bw’abantu mu Buganda.
Owek.Kakomo asinzidde mu ppulogulamu Gakuweebwa Munno, ku 88.8 CBS FM radio y’Obujajja okuva ku ssaawa 4 okutuuka ku ssaaka 6 ezomuttuntu, ng’eweerezebwa Henry Mpinga Ssempijja.
Buli lwakubiri ministry n’ebitongole bya Buganda ebyenjawulo, mwebinnyonyolera emirimu egikolebwa mu bitongole ebyo, okukulaakulanya abantu ba Kabaka.
Owek. Kakomo annyonyodde enkola y’emirimu bwetambudde mu ministry y’ebyobulimi n’obwegassi.
Agambye nti Obulimi bw’emmwanyi bweyongedde n’ebitundu 45% mu Buganda.
Bannamikago beyongedde okwegatta ku ntegeka ya Mmwanyi Terimba, nga basomesa abantu okulima emmwanyi ez’omutindo, okubeera n’amazzi amayonjo, n’ebirala.
Emmwanyi zongedde okukyusa obulamu bw’abantu, nga baweerera abaana, bazimbye n’okuddaabiriza ennyumba, ennyambala y’abantu ekyuse n’ebirala.
Kampuni ya Mmwanyi Terimba eyongedde okugula emmwanyi omuva ku balimi nezitunda ebweru w’eggwanga, okuli Russia,China, Italy n’awalala.
Owek.Kakomo agambye nti bakwongera okulambula abantu abalima emmwanyi n’okubazaamu essuubi, bakutandikira mu ssaza Ssingo nga 18 february,2025. Bagenda Ssingo okulambula emirimu egikolebwayo, omuli okuyooyoota emmwanyi, okusimba emiti egikuuma obutonde n’egy’ebibala.#
Enteekateeka ezijja mu 2025
-Okutumbula obulunzi bw’ebyennyanja, n’okulwanirira eddembe ly’abavubi.
-Nga bakolagana ne NARO ne bannamikago abalala bakwongera okusomesa abantu ku bulimi obw’omulembe.
-Ministry eteekateeka okussaawo ssemaduuka omunene ddala, okusobozesa abalimu n’abalunzi okufuna Eddagala n’ebijimusa ebituufu.
– Ekitongole kya BUCADEF kyafunye ssenkulu omuggya, Omukungu. Alfred Bakyusa.
– Enteekateeka z’emisomo gy’obukulembeze gyakutegekebwa.